Wadde:

1) Okulaakulana mu by’enfuna, nga wekinyonyolwa mu bitabo by’emitindo gye by’ensimbi, kwe kwongera kubungi bw’ebintu ebikolebwa n’empeereza, era;

2) Okulaakulana mu by’enfuna kutukawo ng’obungi bw’abantu bweyongende era ng’ebintu n’empereza eriwo wegabanyizibwaamu emala buli muntu, nate;

3) Eby’enfuna mu nsi yonna bikulira wamu nga mulimu eby’obulimi, ebigibwamu, ebikolebwa, n’empeereza eyetaaga okutekebwamu ebintu ebilabika n’ebisasiro, era;

4) Okulaakulana mu by’enfuna kutera kulabibwa nga gross domestic product (GDP) eyaddala eyongezedwa oba ku gross national product (GNP), era;

5) Okulaakulana mu by’enfuna kubadde kwa makkulu, era ekiseera kyona kigendererwa ky’abantu abasinga ne gavumenti, ate;

6) Okusinziira ku ndowooza za physics n’ebyobutonde waliwo ekkomo ku nkulaakulana mu by’enfuna, era;

7) Obukakafu obulaga okukosebwa okwoluberera ku by’obutonde n’obulamu obulungi nga kiva ku nkulaakulana mu by’enfuna bya mawanga gona bugenda bweyongera …

N’olwekyo, ffe tugamba nti:

1) Waliwo obutabanguko obwamaanyi wakati w’ekulaakulana mu by’enfuna n’okukuuma eby’obutonde (okugeza, okukuuma ebisolo n’ebimera, empeewo n’amazzi amayonjo, obutebenkevu mu bwengula), nate;

2) Waliwo obutabanguko obwamaanyi wakati w’ekulaakulana mu by’enfuna n’empeereza y’obutonde ebikola omusingi gw’abantu (okugeza, ebisobozesa ebimera okubala, okuvuunza ebintu, embeera y’obudde ennungi), era;

3) Okukula kwa tekinologiya kuleese ebilungi n’ebibi ku butonde n’ebyenfuna era tetulina kukyesigamako kutabaganya butabanguko wakati w’enkulaakulana mu by’enfuna n’obuwangazi bwe by’enfuna obulungi, nate;

4) Okulaakulana mu by’enfuna, nga kugerageranyizidwa ku GDP, kweyongera okubeera okw’obulabe era kigendererwa kya mabega, naddala mu nsi egagga ezilina ezilina ettutumu buli wamu, era;

5) Obunywevu bwe by’enfuna mu nsi (nga, eby’enfuna ebinywevu, obutebenkevu bw’emiwendo gy’abantu n’empeereza emala buli muntu) kyakulondako kilungi eri eby’enfuna era kifuuse kigendererwa kya mugaso mu nsi enene, egagga, era;

6) Okudukanya obutebenkevu mu by’enfuna kwetagisa okutekebwawo nga kutono okwewala okumenya okutekebwatekebwa mu matterekero ge by’enfuna ebisuubirwa n’ebitasuubirwa nga ekyeeya, n’amaanyi okukendeera, nate;

7) Eby’enfuna ebilungi mu nsi tekitegeeza nti waliwo enkulankulana, amaanyi, enkola esobozesa tekinologiya ow’enjawulo okukozesebwa era n’ebitundu by’enfuna okukyuuka, nate;

8) Nga eby’enfuna ebinywevu bitekeddwawo, kyandibadde kilungi ensi egagga okuyamba ensi endala okuva ku kigendererwa ky’enkulaakulana mu by’enfuna zilubilire eby’enfuna ebitebenkevu, nga zitandika n’ensi ezinyumirwa empeereza ezimala buli muntu, era;

9) Ensi ezisinga ezilina obwavu buli wamu, nga zongera empereza eriwo eya buli muntu (oba, ekirala, okusasaanya obugagga buli wamu) zisigala n’ekigendererwa eky’omugaso.

Endowooza ya CASSE Ekyuuka n’obudde?

Endowooza ya CASSE ebaddengawo okutekebwako mukono kumutimbagano okuva mu mwezi ogw’okutaano nga 1, 2004.  Wadde nga yakolebwa kulwa nsi zona, mu ngeri emu yassa essira ku nkulaakulana mu by’enfuna bya Amerika.  Yakyusibwa mu mwezi ogw’omukaaga nga 3, 2008, okulaga okukula mu kufaayo n’obwetaavu bwa mawanga amagagga okutwala ebigere ebisooka eri eby’enfuna ebitebenkevu. CASSE tekyusa ndowooza zaayo, kubanga ziyimilidde ku mateeka ga sayansi ag’edda.  Endowooza ya CASSE esasokela ddala esangibwa wano, nga ebikyusibwa byangu okutegeera.

Ssa omukono ku kiwandiiko:

Ssa omukono ku kiwandiiko ng’omuntu kinoomu

Wayo okukkiriza kw’ekitongole 

Laba obuwagizi bw’ekiwandiiko:

Laba enzikkiriza z’ebitongole n’abantu n’emikono gy’abantu sekinoomu 

Laba emikono egisidwako enjawufu

Laba emikono gyona egizidwako